Kawaali w’enkima:Aba IOM badduukiridde minisitule y’ebyobulamu
Minisitule y’eby'obulamu etubuulidde nti ekirwadde kya kawaali w'e nkima kyongedde okwegiriisiza mu uganda, nga mu kampala mwokka abantu abasoba mu 200 bebakazuulwamu obulwadde buno. Okusinga Kawaali ono alabikidde nnyo e Kawempe,Nabweru ne Wakiso. Kati mu mbeera eno ekitongole ki International Organisation For Migration- IOM kidduukiridde minisitule y’ebyobulamu n’ebintu ebyeyambisibwa mu kulwanyisa kawaali ebibalibwamu obukadde bwa siringi 147.