KCCA etandise okuwanula ebipande ebiteereddwa mu bifo eby’enjawulo
Abeegwanyiza ebifo byobukulembeze mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, basabye ekitongole kya Kampala ki KCCA okukolaganira awamu mukifo kyokujjayo ebipande byabwe byebatimbye ku makubo. Bano bagamba KCCA yandibadde eteekesa etteeka lyayo munkola akadde kano kennyi eryokujjako ensimbi abo abaagala okutimba ebipande byabwe mu kifo kyokubijjayo, mungeri eringa etalumirirwa ssente zaabwe zebataddemu, kyokka nga ebizibu ebiruma ba Nakampala bingi.
Bino we bigidde nga aba KCCA bakyagenda mumaaso ne kaweefube waabwe owukuwanulayo ebipande byabesimbyewo era nga olwaleero amakanda bagasimbye ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa mu Kampala.