Kiki ekiddako mu bulamu bwaabaagudde bigezo bya S.4?
Wakyaliwo okusoberwa mu bayizi n'abazadde b'abaana abasoba mu 6000 abaagudde ebibuuzo bya siniya eyokuna kyebagenda okuzaako oluvannyuma lwa ministry y'eby’enjigriza obutaba n'atekaateka nnambuulukufu ebayamba. Gyebuvuddeko abakulu mu ministry eno baategeeza nga abayizi abagudde mu nsoma eno empya bwe balina okuddamu emyaka ena ekintu abakugu mu by’enjigiriza kye bawakanya. Bano baliko amagezi ge bawadde gavumenti ku ky'esaanye okukolera abaagudde saako n'engeri y'okusunsulamu abo abakkiriziddwa okweyongera ku mutendera gw'ebyensoma oguddako.