Kiwedde…omubaka Ssekikubo awezezza emikono
Ababaka ba palamenti abali ku kawefube w’okuleeta ekiteeso ekigoba ba kamisona ba palamenti abana abalumirizibwa okwezibika akawumbi kamu n’obukadde lusanvu nga palamenti ey’awamu temanyi bawezeza emikono 177 bulijjo gyebanoonya okuleeta ekiteso kino. Bano bagamba nti wiiki eja bagenda kutwala emikono gino n’okusaba kwabwe eri Clerk wa palamenti okumuteegeza nga bwebagala ekiteeso kyabwe kitekebwe kwebyo ebirina okuteesebwako .