KKAMPEYINI ZA NRM EZ’AWAMU: E Namisindwa abeesimbyewo bagondedde ebiragiro by’ekibiina
Disitulikiti ye Namisindwa yeemu kwezo oba olyawo banna NRM mu bitundu ebirala zebalina okulabirako bwe kituuka ku kukuba kkampeyini ezaawamu era nga zamirembe. Ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitulikiti eno, abantu mukaaga be baagala okuweebwa bendera y'ekibiina wabula nga bano kkampeyini bazikubira wamu era nga balaga nti teri alina buzibu ku banne bwe bavuganya.