Kkanisa Ya Bungereza: Kazimba Mugalu agamba yali yava dda ku mulamwa
Kkanisa ya Uganda eyanirizza okulekulira kwa ssaabalabirizi w'e Kkanisa Y'obukristaayo enkulu mu Bungereza, Justim Welby nga bano bagamba nti ebyabaddewo tebyewuunyisa kubanga Kkanisa ya Uganda yo yali yabiraba dda n'esalawo obutaddamu kukkirirza mu bukelembeze bw'e Bungereza. Ssaabalabirizi wa Kkanisa Ya Uganda Stephen Kaziimba Mugalu atubuulidde nti abakulu bano babadde baava dda ku njigiriza erambikiddwa mu kitabo ekituvbu ekya Bbibbiliya nga bingi ebibadde bigenda mu maaso mu mwankwetu. Kkanisa ya kuno yaakusgala ng'esabira ginaayo ey'e Bungereza.