Kkansala Twebaze kkooti emukkirizza okweyimirirwa
Waliwo Kansala mu district y'e Kakumiro atuubagira n'emisango gy'okwogera ebijweteke ku ssaabaminisita Robina Nabbanja nga kigambibwa nti ebigambo bino yabyogera asinziira ku mukutu gwa radio eyitibwa Amazon mu kitundu kino. Eria Twebaze, nga akiikirira town council ye Gayaza ku district y'e Kakumiro olwaleero yeeyimiriddwa wakati mu bigambo ebingi okuva mu bawagizi be, abalumiriza nti omuntu waabwe, bamulanga kulangirira nga bw'atagenda kuwagira ssaabaminisita mu kalulu akaddako. Abakulembeze mu NRM mu kitundu kino, nga bebasinze okuvaayo okumweyimirira basabye ssaabaminisita ebimunyiiza ajje babimale nga abaana ab'omunju okusinga okweswaliza mu lujudde mu kkooti.