KKANSALA WA NUP ATALABIKA: Poliisi eri ku muyiggo
Poliisi y’eKyengera etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo kkansala wa NUP owa Kitanga e Wandegeya Sharon Kemigisha eyabula . Ono ye Mukyala wa Haruna Kasozi nga wa NUP era nga Kkansala e Lubaga . Okusinzira ku mu myuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano , Luke Oweyesigire, Kasozi yekubira enduulu ku Poliisi ku sande ya ssabiiti ewedde oluvanyuma lwa mukyalwe obutadda waka.Ab'oluganda n'emikwano gy'omukyala ono bagamba nti basobeddwa olw'omuntu wabwe atalabikako.