Kkooti esomedde eyatta bba e Luwero gwa butemu, emusindise ku alimanda
Regina Namande omukazi eyakuba bba ejjinja n’amutta ku lunaku lw'eggandaalo lya sekukkulu e Luwero asimbiddwa mu kkooti olwaleero naggulwako ogwobutemu. Olwokuba omusango gwe gwa nnaggomola, Namande takkiriziddwa kwewozaako era bwatyo nasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 23 omwezi ogujja. Kkooti ekubiriziddwa omulamuzi Tindyebwa Adyeeri .