Kkooti eyagala emisango gya Muhammad Ssegirinya giggyibwe ku fayiro
Gavumenti eggyeeyo emisango gy'obutemu n'obutujju gye yali yaggula ku Muhammad Ssegirinnya eyali omubaka wa Kawempe North kati omugenzi.Olwaleero kkooti ebadde ewozesa Ssegirinya ne banne abalala efunyeewo n'akadde okusaasira bannayuganda olw'okufiirwa omubaka ono.Oludda oluwaabi lusabye okuddamu okulongoosa mu mpaaba yaabwe, olwo bakomewo nga mu bebavunaana Ssegirinya takyalimu.