Kyagulanyi agamba omwaka 2024 tegubadde mwangu n’akamu
Akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu akubye tooci mu mwaka gwa 2024 ng'gamba nti tegubadde mwangu nakamu . Kyagulanyi anokoddeyo enguzi eyayitirira mu Palamenti yeggwanga, gyagamba nti yatwaliramu neyali omukulembeze wweekibiina Mathias Mpuuga gwe baalanga okwegabira obukadde obutaano . Ono agamba nti ekibiina kyetegefu okukolagana n'ebibiina ebirala ebyagala enkyukakyuka mu bukulembeze wabula nga ye waakwesimbawo .