Liirino essomero erijunye abaana abalekeddwawo bazadde baabwe
Mu buufu bwe bumu waliwo essomero e Mukono erisomesa abayizi abaliko obulemu kko nabo abatali eriyambye okulaba ng'abaana abaliko obulemu nabo bafuna ebyenjigiriza. Essomero lino lisomesa n'okulabirira abayizi abaliko obulemu obwenjawulo abasukka mu 100 nga nabamu ku bbo tebamanyiddwako baabwe. Batubuulidde okusmoozebwa kwe bayitamu omuli n'abamu ku bazadde okubasuulira abaana abaliko obulemu ne bataddamu kubalambula wadde okubuuza ebibakwatako.