Lugogo Indoor Arena ne Old Kampala Sports Arena by’ebifo awagenda okuzannyirwa eza Zone V Volleyball
Ekibiina ekitwala omuzannyo gwa Volleyball mu ggwanga ki Uganda Volleyball Federation, basubira nti empaka za zone five ezetabwamu kkiraabu zikirimaanyi okuva mu mawanga mukaaga, zakuyamba okutumbula omuzannyo gwa Vollyeball mu ggwanga wamu n'okutunda abazannyi ba Uganda ebweru w'eggwanga. Empaka zino zakujibwako akawuwo ku nkomeroro ya sabiiti ejja mu kisawe eky'omuda e Lugogo wamu ne Old Kampala. Kkiraabu za Uganda nnya okuli KCCA ey’abakazi n’ey'abasajja, Sport S, Nemostars ne Nkumba zezakakasiddwa okwetaba mu mpaka zino ezisokedde dala.