Luyimbazi Nalukoola agamba kaadi ya NUP yamugwanidde
Oluvanyuma lw'okukakasibwa ekibiina ki NUP okukikwatira bbendera mu kalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North, Munnamateeka Elias Luyimbazi Nalukoola, agamba Kati amaaso agatadde ku kwegatta n'abo beyavuganyizza n'abo, okulaba nga baleetera ekibiina obuwanguzi. Ono twogeddeko naye mu mboozi ey'akafubo n'atutegeeza n'abamwogerera nti ekibiina kyayanguye okumwesiga bwe bamubulamu ng'enjogera y'ennaku zino.