Mao aggyeyo empapula, ayagala bwa pulezidenti bwa kibiina kya DP n’era
Pulezidenti w'ekibiina ki Democratic Party Nobert Mao nate ajjeyo empapula z’okuddamu okwesimbawo ku bukulumbeze bw’ekibiina, kyeyaakamala ebbanga lya myaka 15 nga akulemberera. Mao agambye nti newankubadda ayise mu kumettebwa enziro olw'enkolagana gy'alina n'ekibiina ekifuga ki NRM , alina obukakafu nti y'akyaali omukulembeze ekibiina gwekyetaaga. Alonze omumyukawe Fred Mukasa Mbidde nga agenda okukulemberamu kakuyege ewokumusaggulira obuwanguzi.