Minisita Otafiire alabudde abapoliisi ku ky’okumala gatta bantu
Minisita ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen Kahinda Otafiire agamba abaserikale abegumbulidde ogw’okumala gatta abantu ensangi zino bakunonyerezebwako era bakangavvule. Kahinda okwogera bino abadde ayanukula ku ngeri ebitongole ebikuuma ddembe gye byassemu abantu mukaaga ku bbala ya ssabiiti eno e Kamwokya nga babatebereza okutekateeka olukwe lw’obunyazi bwa ssente. Agambye nti baali bakaanya dda ne poliisi ku ky’okukomya okumala gatta abantu nga tebamaze kunonyereza, kale nga abaserikale bonna abaakikola bakukwatibwa , bakangavvu