Mmotoka ezitwalayo ebyamaguzi e Congo okuyita e Kanaara zikonkomadde
Mmotoka ezitwa ebyamaguzi mu ggwanga lya Congo wetwogerera nga zikonkomalidde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Semuliki oluvannyuma lw’ebyentambula ku luguudo oluva e Karugutu okudda ku mwalo gwe Kanaara okusannyalala. Embeera y’oluguudo luno embi waliwo mmotoka ezaagudde mu kkubo nga kati teri mmotoka zisobola kusala.