Mpuuga asisinkanye ab’akakiiko k’eby’okulonda ku by’ennongoosereza
Okulira ekisinde ki Democratic Alliance Mathias Mpuuga, asisinkanye akakiiko k’eby’okulonda ku nteekateeka ze ez’okulaba nga wabaawo ennongosereza mu by’okulonda, okusobola okutegeka akalulu ak’amazima n’obwenkanya saako n’okwewala obutabanguko. Mu birowoozo bya Mpuuga mulimu eky’okukendeeza ku Constituency, okutereeza enkalala z’abalonzi, okwo kwosa okunyweza eby’okwerinda by'abyesimbyewo n’ensonga endala nyingi.