Museveni avuddeyo ku by’ensimbi obukadde ekikumi ezigambibwa nti zaaweereddwa ababaka ba palamenti
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni, avuddeyo ku by’ensimbi obukadde ekikumi ezigambibwa nti zaaweereddwa abamu ku babaka ba NRM, ab’oludda oluvuganya ne bannamunigina okwekubako enfuufu. Mu kiwandiiko kye ekifulumiziddwa amaka g’obwa pulezidenti, Museveni awakanyiza ebigambo by'ababaka ku ludda oluvuganya abalumiriza nti ssente ezaweereddwa ababaka zaggyiddwa ku mbalirira ya State House ennekusifu. Ono agamba nti ssente z’embalirira enneekusifu zikozesebwa okugula ebintu ebyekusifu mpozzi n’okwongera amaanyi mu mirimu egigendereddwamu okufuunza abalabe b’eggwanga, okusobola okukuuma obutebenkevu. Kyokka Museveni teyegaanye yadde okukkiriza nti ssente ezoogerwako zaavudde wuwe