Nalukoola n’akakiiko k’ebyokulonda bawaddewo okwewozaako kwabwe
Omubaka wa Kawempe North Elias Luyimbaazi Nalukoola ataddeyo okwewozaako kwe mu musango ogwamuwaabirwa Munna-NRM Faridah Nambi ng'awakanya obuwanguzi bwe mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North.Nambi yategeeza nga bwewaliwo obululu obutaabalibwa mu bifo ebimu, songa okulonda kuno era waliwo Nalukoola lweyalabwa ng’agulirira abalonzi. Mungeri yemu n’akakiiko ke by’okulonda kawaddeyo okwewozaako kwako, nekasaba kooti omusango gwa Nambi egugobe.