Nnyina w'omwana owa P6 gwe baafunyisa olubuto ayagala bwenkanya
Waliwo omukadde ow’emyaka 64 mu district y’e Katakwi ayagala obwenkanya oluvannyuma lwa muwala we abadde asoma P6 okufuna olubuto. Eyalumufunyisa aliko omukazi gwe yeekobaana naye baluggyemu naye ne lulemeramu era omuwala n’atandika okuvunda munda. Ekikyazingamizza obwenkanya kigambibwa nti ye Poliisi ekyalemereddwa okutwala sampolo z’eddagala ly’ekinnansi mu laabu ya gavumenti likakasibwe nti lye lyavaako obuzibu obwatuuka ku mwana. Kigambibwa obuzibu buvudde ku ntambula.