NRM ne UDA basse omukago okukolaganira awamu ku nsonga ez’enjawulo
Ssaabawandiisi w’ekibiina ekiri mubuyinza muggwanga lye Kenya ki United Democratic Alliance, Hassan Omar, awanjagidde bakulu Okutandika okulowooza ku ky’okuteekateeka anaddira Pulezidenti Museveni mubigere, okwewala obutabanguko obwengeri yonna. Bino abyongeredde ku mukolo ebibina byombi kwebittidde omukago okukolaganira awamu ku nsonga ezenjawulo nga guno guyindidde ku kitebe kya NRM wano mu Kampala.