NUP edduukiridde abaana b’abantu baabwe abaasibwa
Pulezidenti w'ekibiina ki National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu ayambalidde gavumenti okugana okuyimbula abantu baabwe abaasibwa mu makomera olwebyobufuzi. Bino okubyogera abadde addukiridde famire z'abantu abakyali mu nkomyo ku nsonga z'ebyobufuzi nga kwekuli nabo abatamanyiddwako mayitire. Famire zino ziwereddwa ebintu ebikozesebwa mukusoma, ne ffiizi.