Obufere mu by’ensimbi, eyali aziweereza e buyindi tezatuuka
Waliwo omutuuze Pius Kwesiga ali mu maziga olwa b’oyinza okuyita abafere okumubbako ensimbi obukadde kkumi zeyali asindika e India okujjanjaba kitaawe. Ssente zino yazisindika akozesa enkola eya Maney-Grame kyoka eyazibba n’azikwatira mu bbanga nga tezinatuka gyezisindikiddwa. Poliisi ne banka enkulu ey’eggwanga batugambye nti obunyazi nga buno nate busitudde e nkundi ensangi zino, kyoka nga nabo bongedde amaanyi mu kunonyereza. Mu mboozi eno ey’ebitundu ebibiri Dorothy Nagitta agenda kutubuulira engeri ensimbi za Pius Kwesiga gye zabbibwamu.