OBUSAMBATTUKO MU APAA: Abaadduka e Pabbo embeera mu nkambi ebakaluubirira
Waliwo abantu abasoba mu lukumi abakonkomalidde mu nkambi ey’ekiseera eyakubiddwa mu kyalo Acholiber mu disitulikiti ye Amuru oluvannyuma lw’okudduka obulumbaganyi obwabakolwako olw’enkaayana ku ttaka mu kitundu kye Apaa. Abantu bano mu kiseera kino ekyokulya bawamma kiwamme era nga baagala gavumenti ebaduukiirire wabula okusinga efune engeri gyegonjoolamu ekaayana ku ttaka zino ezimaze ebbanga nga tezinogerwa ddagala. Bangi ku bano bava mu ggombolola ye Pabbo oluvannyuma lw’amayumba gaabwe okuteekerwa omuliro mu bulumbaganyi obwabakolwako be bagugulana nabo ku ttaka wiiki ewedde.