OKUKUNGA OBUWAGIZI: FDC y’e Najjanankumbi yakutalaaga eggwanga
Ekibiina ki FDC ekiramulira e Najjanankumbi kitongozza enteekateeka z’okutalaaga eggwanga okukunga obuwagizi mu bannayuganda saako n’okuwandiisa bammemba b’ekibiina. Pulezidenti wa NUP Patrick Oboi Amuriat agamba nti kkaadi z'obwammemba zonna ezaagabwa mu kusooka zisaziddwamu nga ne bannakibiina baakuddamu bupya okwendiisa. Kyokka Erias Lukwago akulembera ekiwayi kya FDC eky’e Katonga ne Ssentebe waakyo Waswa Biriggwa, bateereddwako obukwakkulizo obukakali singa nabo basalawo okudda mu kibiina.