Okukungubagira Aga Khan IV mu kibuga Lisbon ekya Portugal
Abakungubazi abavudde ebule ne bweeya omubadde ne ssaabaminisita wa Canada justin Trudeau, bakunganidde ku kitebe kya benzikiriza ya ba Shai ismaili mu kibuga lisbon mu ggwanga lya Portugal , okwetaba mukusaalira abadde omukulembeze wabayisimayiri owa 49 Karim Aga Khan owokuna eyafa ku ntandikwa ya wiiki eno ku myaka 88. Ono waakuziikibwa olunaku lw'enkya mu Aswan ekya Misiri. Aga Khan owokuna yeyatandikawo ekitongole kya Aga Khan Development Network ekirina ebintu ebyenkulakulana mu mawanga agenjawulo omuli ne Uganda.