Okulagajjalira ekigezo: E Kassanda waliwo omuzadde eyeekubidde enduulu
Waliwo omukazi e Kassanda alumiriza abakozi b'ekitongole ki UNEB abakuuma ebigezo okulagajjalira omulimu gwabwe nebeerabira okussa ekigezo kya muwalawe ekyesomo lya social studies oba SST mu bbaasa egendamu ebyo ebiwedde okukolebwa. Agamba nti abakulu ku district bamutegeeza nga ekigezo bwekyakookerwa ku bbaasa eyalimu ebigezo by'abaana wabula ebigezo mu kudda, essomo lino teryaliko ku alizaati za muwalawe. Ekyewuunyisa omwana abadde yatandiika siniya wabula nga webituuse ayolekedde okuddayo mu kyomusanvu. UNEB ebasabye bagituukirire ensonga zigonjoolwe.