Okulonda kwa Kawempe North kwa nkya, akakiiko k’eby’okulonda kazzeemu okusisinkana abavuganya
Akakiiko K'ebyokulonda kasambazze ebigambibwa nti waliwo abaabadde benyingira mu kubba akalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North, akalindiriddwa okukubwa olunaku olw'ekya. Akulira akikiiko Simon Byabakama ategeezezza nti envuuvuumo zino ssizaakubajja ku mulamwa okujjako nga waliwo obujjulizi obuleeteddwa eri akakiiko, era n'agumya bannaKawempe nti akalulu kaakuba ka mazima n'obwenkanya.