OKULONDA KWA NRM: Omulabirizi Tibaijuka ayagala kubeere kwa kabokisi
Omulabirizi wa Rwenzori West Barnabas Tibaijuka ayagala ekibiina ki NRM kikyuse mu ngeri gyekitegekekamu okulonda kw'akamyufu k'ekibiina okudda ku kabokisi. Ono agamba nti eno yengeri yokka ejja okuyamba okumalawo emivuyo egyeyolekedde mu kamyufu k'ekibiina kino. Negyebuli eno waliwo abakyemulugunya olw'emivuyo egyalabikira mu kalulu kano nga waliwo n'abeesomye okwesimbawo ku bwannamunigina.