OKUSIIWUUKA EMPISA: Ab’essaza lya Kyaggwe batubuulidde ebyabalagiddwa
Akulira essazza lya Ky'aggwe Ssekiboobo Vicent Matovu avuddeyo n'ategeeza nga bwebamalirizza okwogerezeganya n'abategesi b'empaka za Masaza okulaba nga obuvuyo obw'alabikira mu mupiira nga Kyaggwe ezannya ne Butambala tebuddamu kubaawo. Kino kiddiridde embeera eyaliwo abawagizi b’essaza lya Kyaggwe bwe baasiiwuuka empisa ne baagala okugajambula ddiifiri Edward Sekajugo eyalamudde omupiira gwabwe nè Butambaala, nga balumiriza okubeera nè kyekubiira. Mu bimu ku byebakkiriziganyaako mwe muli n'okuteeka akatimba okwetooloola ekisaawe ky'abwe okutangira abawagizi abeefujjo okuyingira nga omupiira gugenda mu maaso.