Poliisi eyogedde ku bavubuka babiri abattiddwa e Makindye
Poliisi etubuulidde nti waliwo abantu babiri abattiddwa abatuuze mu zone ya Kiwafu ekisangibwa mu muluka gwe kKansanga mu gombolola ye Makindye nga balangibwa kukola bulumbaganyi ku kyalo kino. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango abattiddwa baabadde kukabinja kabavubuka akakazibwako eggaali akaalumbye abatuuze mu kitundu kino nba bagezaako okukuba n'okubanyaga.