UPC etegese ttabamiruka, eyongezza Jimmy Akena ekisanja
Pulezidenti wa UPC Jimmy Akena bamwongedde ekisanja ekirala kya mwaka mulamba ngakulembera ekibiina, mu ttabamiruka w'ekibiina atuuziddwa olwaleero yadde nga kkooti yayisizza ekiragiro ekikugira enteekateeka eno okugenda mu maaso. Abamu ku beetabye mu ttabamiruka ono bagamba nti waliwo obuwaayiro obukyusiddwa mu ssemateeka w'ekibiina okusobozesa Akena okukwatira ekibiina kino bendera mu kalulu ka 2026. Ttabamiruka ono atudde mu bitundu bye Naalya mu disitulikiti ye Wakiso era ngabakiise basinzidde ku mutimbagano okumwetabako.