Okulondoola enkola ya PDM; waliwo ensimbi ezitamanyiddwa kye zaakola
Akakiiko ka palementi akalondoola ensasaanya ya sente z’omuwi w’omusolo ka Public Accounts commitee kayise abakulu abaddukanya ekitebe ekivunanyizibwa ku ssente za Parish Development Model (PDM) banyonyole butya bwe basasaanya obuwumbi 5.7 ezaalina okukola emirimu egy'enjawulo okuli n’okulondoola entambuza yenkola eno kyoka bbo ensimbi ne bazikolamu ebintu ebirara. Okuzuula bino babade basisinkanye abakulu okuva mu minisitule ya gavumenti ezebitundu, nebakizuula nti ensimbi ezigenda mu PDM , zibulankanyizibwa.