OKULONDOOLA SSENTE Z’EMIRUKA: Museveni wakutalaaga division za Kampala wiiki ejja
Kitegeerekese nti wiiki ejja omukulembeze w’eggwanga lwagenda okukommekkereza kaweefube w’okulambula pulojekiti ezenjawulo ezitandikiddwawo bannayuganda okuyita mu Nteekateeka za gavumenti eziteereddwawo okuggya bannayuganda mu bwavu naddala eya Parish Development Model. Okusinziira ku lukiiko oluteesiteesi omukulembeze w’eggwanga wakutalaaga Division zonna ezikola ekibuga Kampala okutandika ne bbalaza ya wiiki ejja. Leero wabaddewo olukiiko olwenjawulo olutudde okuteekateeka okulambula kw’omukulembeze w’eggwanga nga lwetabiddwako abakulembeze mu Kampala kko n’abebyokwerinda.