OKULWANIRA OMUSIPI GWA AFRICA: Muwonge waakuttunka ne mbukwa
Munnayuganda Latib Muwonge wakwambalagana n'omutanzania Ally Mbukwa mu bikonde eby'okusunsulamu anaalwanira omusiipi gwa Africa boxing Union mu buzito bwa super welter nga enaku z'omwezi ssatu omwezi ogujja ku club Obligato wano mu Kampala.
Muwonge alina likoda yanwana z'ebikonde by'ensimbi musanvu nga zona aziwangudde songa omutanzania Mbukwa naye alina enwana musanvu wabula nga wangudwako biri. Bano bakutunka mu round munana wabula nga wakusokawo enwana musanvu ezinajja abalabi ekifu ku masso.