OKULWANYISA AMATABA MU KAMPALA: KCCA Yaakukwata abamansa kasasiro
Omuntu yenna anaasangibwa ng’amala gamansa kasasiro mu kibuga Kampala oba mumyala ayolekedde okusibwa emyezi mukaaga, okusasula engassi ya Bukadde kkumi, okukola bulungi bwansi okumala ebbanga. Okulabula kuno kuvudde mu bakulu ba KCCA abagamba nti kasasiro ono yavuddeko emyala egisinga okuzibikira ekivaako amataba okwegiriisiza mu kibuga. Olwaleero bano bakedde kugogola myala egyenjawulo naddala egyo egiyiwa mu nnyanja obutereevu.