Okulwanyisa enguzi :Tayebwa agamba palamenti elina omulimu munene
Amyuka Sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa agamba nti kawefube gwebolekedde nga abakulembeze ba palamenti w’akugogola nyumba yabwe oba palamenti okumalawo eky'abantu okubalumiriza nti bebakutte omumuli gw’okulya enguzi mu ggwanga, Okwogera bino ababdde agalawo okutendekebwa kwa ba ssentebe b’obukiiko bwa palamenti abapya mwabasabidde okukozesa obukiiko bwabwe okulwanyisa enguzi.