OKULWANYISA OBUTABANGUKO MU MAKA: Obulabirizi bw’e Mukono butongozza emisinde gya buli mwaka
Obulabirizi bw’e Mukono butandise emisinde gi mubuna byalo egy'abaana nga gyakubangawo buli mwaka mu kawefube w'okulwanyisa obutabanguko mu maka. Emisinde egisoose gyetabiddwamu n’omulabirizi Enos Kagodo era nga gisimbuddwa omubaka omukyala owa Luwero Brenda Nabukenya ku Uganda Christian University e Mukono. Ab'obulabirizi bwe Mukono era balina n'enteekateeka y'okuzimba ekifo awanaabudabudibwa abaana abakosebwa obutabanguko mu maka.