Okusomesa abaana abaliko obulemu : E Bukomansimbi tebalina bikozesebwa
Abayizi abaliko obulemu bongedde okusanga okusomoozebwa mu by'okusoma, olw'ebbula ly'abakugu abayinza okubayambako okuba ku ssa ly'erimu ne bannaabwe abataliiko bulemu. Misanvu Demonstration school ly'elimu ku masomero mu bitundu by'e Bukomansimbi agalimu abaana abangi abaliko obulemu wabula newankubadde babateerawo ekifo eky'enjawulo webasomera, basanze okusomoozebwa kungi okuyita kubanga abakugu okubayambako tebaliiwo.