OKUTEGEKA KWA AFCON WA 2027 :Biki Ebyetaagisa Okuva Eri Uganda, Kenya Ne Tanzania
Uganda yeyunze ku Kenya ne Tanzania nebassamu okusaba okwawamu eri ekibiina ekifuga omuzannyo gw'omupiira mu Africa nga baagala okutegeka empaka z'omupiira gwa mawanga ga africa ez'omwaka gwa 2027. Wabula kino kyaleseewo ebibuuzo okuva mu bannabyamizannyo nga beebuuza oba ddala Uganda eneesobola okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa okutegeka empaka zino.