Okutulugunya bannamawulire; ab’e Mpigi nabo basitudde eddoboozi
Bannamawulire abagasakira mu bendobendo ly’e Mpigi beegasse ku banaabwe mu ggwanga lyonna okuvumirira ebikolwa by’abakuuma ddembe okudda nga ku bannamawulire okubawuttula. Kino kiddiridde abakuuma ddembe okuwuttula bannamawulire mu kulonda okwabadde e Kawempe North, kyoka ne bateetonda. Bano baliko ne bannabyabufuzi bebalumiriza okubatisatiisa okubatusaako obulabe.