OKUZIMBIRA AB’E KITEEZI: Enteekateeka eyanjuddwa ewa Ssaabaminisita Nabbanja
Minisitule ekola ku by’amayumba ne ttaka nga eri wamu nekitongole ki KCCA batekateeka okuzimbira amayumba 638 gaweebwe abantu abakosebwa okubumbulukuka kwa kasasiro e kiteezi kyoka nga bakuzisasulira mu kibanja mpola. Ekiteeso kino bakibuulidde ssabaminisita Robinah Nabbanja nga kyetaagiisa obuwumbi 77 okuzimba ez'ebisenge ebibiri oba okweyambisa obuwumbi 84 bazimbe ez'ebisenge ebisatu Singa ekiteeso kino kigulwa amayumba gano gaakuzimbwa Dundu e Mukono.