Okwekalakaasa mu kibuga:Waliwo abalala abakwatiddwa
Abantu abatonotono abalowoozebwa okuba nga beebamu kwabo ababadde beekungira ku mutimbagano okwekalakaasa mu ngeri ey’emirembe olwaleero beekalakaasizza omulundi ogw'okubiri. Bano poliisi tebaganyizza kutuukiriza kiruubirirwa kyabwe eky’okutambula okutuuka ku palamenti era bakwatiddwa wakati mu lugendo lwabwe. Kyokka ku palamenti waliwo omuvubuka akubye abasirikale ekimmooni era bamwekangidde awo ng'agenze okujjamu essaati ng’alina T’shirt munda eriko obubaka obuvumirira enguzi.