Olugendo lwa Zebra Ssenyange Junior mu bikonde by’ensimbi lutandise bulungi
Omuzannyi w’ebikonde Isaac Zebra Senyange yetegekera lulwana lwe olw’ensimbi olwokusatu olunabeera e Dubai nga March 2 mu buzito baa Superwelter weight - kkiro 70. Senyange Junior eyatandika ebikonde by’ensimbi nga December 29 omwaka oguwedde yakawangula ennwana bbiri nga zonna akuba ttonziriranga oba knock out mu laawundi esooka. Ono mutabani w'omugenzi Mando Senyange eyali omutendesi w'ebikonde mu Zebra Boxing Club ne ttiimu y'eggwanga eyattibwa mu December wa 2020.