OLUGUUDO LWA TRAIN Y’AMASANYALAZE :Obuwumbi 600 ziteereddwa mu mbalirira ya 2023/24 okuluzimba
Kitegeerekese nti obuwumbi obusoba mu 600 bwe bwateereddwa mu mbalirira y'omwaka ogujja ogwa 2023/2024 okukola ku byokuzimba oluguudo lwa train yamasanyalaze. Okusinziira ku Minisita omubeezi avunanyizibwa kubyentambula Fred Byamukama mu mbalirira yemu muteereddwamu obuwumbi 80 nga bwakuliwa abagenda okukosebwa oluguudo luno Byamukama abadde yeetabye mu nsisinkano yaba minisita b'amawanga ga East Africa okwogera ku by'okuttukiza enteekateeka y'oluguudo lwa train yamasannyalaze