Oluguudo lwafuuka mugga; Okumala emyaka etaano teri ayamba
Abatuuze ku byalo mukaaga mu ggombolola ye Kitumbi mu district y'e Kiboga bali mu kusoberwa oluvannyuma lw'enkuba ebadde etonnya obutasalako okusanyaawo oluguudo olubadde lubagatta. Bano kati bakozesa bwato bwa nkasi okusomoka wabula nga nakyo kifuuse kizibu olw'amaato gano nago okuba nga matono nnyo. Bagamba gavumenti ebyabwe eringa etabiwulira, kubanga beekubidde enduulu naye nga buteerere.