Olwaleero ekirabo kya Kabaka eky’eddwaliro kitongozeddwa
Amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka ag'emyaka 70 egy'okuyuuguuma gatuuse weganyumira, oluvannyuma lw'ekirabo ekikulu okuweebwayo. Lino ly'e ddwaliro eryazimbiddwa mu ssaza Singo nga liri ku mutendera gwa Health Centre 4. Katikkiro Charles Peter Mayiga nga awerekeddwako Nnaalinnya Sarah Kagere babaddewo nnyo okusimba ejjinja erikakasa nti eddwaliro lino kirabo kya Beene eky'amazaliibwa.