OMULIRO E LUGAZI: Waliwo ogwokezza akatale ka Kinyoro, bingi bitokomose
Omuliro ogutanamanyika kwegwavudde mu kiro ekikeeseza enkya ya leero gunsanyizzaawo akatale akamanyiddwa nga Kinyolo mu minisipaali ye Lugazi mu district ye Buyikwe. Tukitegedde nti omuliro guno gwatandise ku saawa nga kkumi , ng’obudde busasaana , negusanyaawo buli kintu ekyabadde mu katale.