OMUZANNYO GW’OKUDDUKA: Dradiga ne Nakaayi baakukiika muza World Athletics Indoor
Abaddusi Tom Dradiga ne Halima Nakayi bakukirira Uganda mu misinde gya World Athletics Indoor championship egitandika ku Lwokutaano lwa wiki ejja mu kibuga Nanjing ekya China. Abaddusi bombi olwaleero beetabye mu mpaka z’eggwanga ezibadde e Namboole n’ekigendererera eky’okwongera okwetegeka nga tebannasitula kugenda China.